1 Samwiri 8
8
1Awo olwatuuka, Samwiri ng'akaddiye, n'afuula batabani be abalamuzi ba Isiraeri. 2N'omubereberye erinnya lye Yoweeri; n'ow'okubiri erinnya lye Abiya: baali balamuzi mu Beeruseba. 3#Kuv 18:21; 23:8, Ma 16:19, 1 Sam 2:12, Zab 15:5Batabani be ne batatambulira mu makubo ge, naye ne bakyama okugoberera ebintu, ne balya enguzi, ne balya ensonga.
4Awo abakadde ba Isiraeri bonna ne balyoka bakuŋŋaana ne bajja eri Samwiri e Laama: 5#Ma 17:14, 1 Sam 8:19,20, Kos 13:10, Bik 13:21ne bamugamba nti Laba, ggwe oli mukadde, ne batabani bo tebatambulira mu makubo go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'amawanga gonna. 6Naye ekigambo ekyo ne kinyiiza Samwiri, bwe baayogera nti Tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'asaba Mukama. 7#Kuv 16:8, 1 Sam 10:19Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi ly'abantu mu byonna bye bakugamba: kubanga tebakugaanyi ggwe, naye bagaanyi nze, nneme okuba kabaka waabwe. 8#Balam 2:12; 10:13Ng'emirimu gyonna bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nnabaggya mu Misiri okutuusa leero, kubanga bandeka ne baweereza bakatonda abalala, naawe bwe baakukola bwe batyo. 9#1 Sam 10:25Kale nno kaakano wulira eddoboozi lyabwe: naye onoobategeereza ddala n'obalaga kabaka bw'alifaanana alibafuga.
10Awo Samwiri n'abuulira abantu abaamusaba kabaka ebigambo bya Mukama byonna. 11#Ma 17:16, 1 Sam 14:52, 1 Bassek 1:5N'ayogera nti Bw'ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala batabani bammwe n'abeewandiikira olw'amagaali ge era okuba abasajja be abeebagala embalaasi; awo banaddukiranga mu maaso g'amagaali ge: 12era alibeewandiikira okuba abaami b'enkumi n'abaami b'ataano; era alissaawo abamu okulima ensi ye n'okukungula ebikungulwa bye, n'okuweesa ebintu bye ebyokulwanyisa n'ebintu eby'omu magaali ge. 13Era alitwala bawala bammwe okufumbanga eby'akaloosa era okuba abafumbiro era okuba abasiisi. 14#1 Bassek 21:7, Ez 46:18Era alitwala ennimiro zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabibu n'ez'emizeyituuni, ezisinga obulungi, n'aziwa abaddu be. 15Era alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'ensigo zammwe n'eky'ensuku zammwe ez'emizabibu n'agabira abaami be n'abaddu be. 16Era alitwala abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'abalenzi bammwe abasinga obulungi n'endogoyi zammwe n'abakoza emirimu gye. 17Alitwala ekitundu eky'ekkumi eky'endiga zammwe: era muliba baddu be. 18#Nge 1:28, Is 1:15, Am 8:12, Mi 3:4Era mulikaaba ku lunaku olwo olwa kabaka wammwe gwe muliba mwerondedde; so Mukama talibaddiramu ku lunaku olwo. 19Naye abantu ne bagaana okuwulira eddoboozi lya Samwiri; ne boogera nti Nedda; naye twagala kabaka atufuge; 20#1 Sam 8:5naffe tufaanane ng'amawanga gonna; kabaka waffe atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atukulembedde atulwanirirenga entalo zaffe. 21Samwiri n'awulira ebigambo byonna eby'abantu, n'abyogera mu matu ga Mukama. 22#1 Sam 14:51, 1 Byom 8:33Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Wulira eddoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'agamba abasajja ba Isiraeri nti Muddeeyo buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.
Currently Selected:
1 Samwiri 8: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.