1 Samwiri 11:6-7
1 Samwiri 11:6-7 LUG68
Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, bwe yawulira ebigambo ebyo, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo. Awo n'addira ente bbiri n'azitematema n'aziweereza okubuna ensalo zonna eza Isiraeri mu mikono gy'ababaka ng'ayogera nti Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa. Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.





