1 Samwiri 10
10
1 #
Ma 32:9, 1 Sam 9:16; 16:13, 2 Sam 2:4, 1 Bassek 1:34,39, Zab 78:71; 89:20 Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'obusika bwe? 2#Lub 35:19,20, 1 Sam 9:3,5Bw'onoova gye ndi leero, onoolaba abasajja babiri ku malaalo ga Laakeeri, mu nsalo ya Benyamini e Zereza; awo banaakugamba nti Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe ng'ayogera nti Naakola ntya olw'omwana wange? 3#Lub 35:1,3,7, Balam 20:18,26Awo onoovaayo ne weeyongera okugenda mu maaso n'otuuka awali omwera gwa Taboli, onoosiŋŋaanwa eyo abasajja basatu nga bambuka eri Katonda e Beseri, omu ng'atwala abaana b'embuzi basatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ekita eky'omwenge: 4awo banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri: gy'oba otoola mu ngalo zaabwe. 5#1 Sam 9:12; 13:4, 2 Bassek 3:15N'olyoka otuuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo eky'Abafirisuuti: awo olunaatuuka, bw'onooba ng'otuuse eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaaba nga balagula: 6#Kubal 11:25, Balam 3:10; 14:6,19, 1 Sam 11:6; 16:13; 19:23,24awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, n'olagulira wamu nabo, n'ofuuka okuba omuntu omulala. 7#Yos 1:5, Balam 6:12,17, Luk 2:12Awo olunaatuuka, obubonero obwo nga bukutuuseeko, okolanga ng'omukono gwo bwe gunaasanga bwe biri; kubanga Katonda ali naawe. 8#1 Sam 11:14,15Era ononkulembera n'oserengeta e Girugaali; nange, laba, ndiserengeta gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe: olimalayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola. 9Awo olwatuuka bwe yakyusa amabega ge okuva Samwiri w'ali, Katonda n'amuwa omutima omulala: obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
10 #
1 Sam 11:6; 16:13 Awo bwe baatuukayo eri olusozi, laba, ekibiina kya bannabbi ne kisisinkana naye; omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye n'amaanyi, n'alagula mu bo. 11#1 Sam 19:24, Mat 13:54,55, Yok 7:15Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, laba, ng'alagulira wamu ne bannabbi, awo abantu nga bagambagana nti Kiki kino ekimujjiridde mutabani wa Kiisi? ne Sawulo ali mu bannabbi? 12#Is 54:13, Yok 6:45, Kuv 17:14, Ma 17:14-20, Yos 24:26, 1 Sam 8:11-18Awo omuntu ow'omu kifo omwo n'addamu n'ayogera nti Ne kitaabwe ye ani? Kyerwava lufuuka olugero nti Ne Sawulo ali mu bannabbi? 13Awo bwe yamala okulagula n'ajja mu kifo ekigulumivu.
14 #
1 Sam 9:3-6; 14:50 Awo kojja wa Sawulo n'amugamba ye n'omuddu we nti Mwagenda wa? Naayogera nti Okunoonya endogoyi: awo bwe twalaba nga tezirabise ne tujja eri Samwiri. 15Kojja wa Sawulo n'ayogera nti Mbuulira, nkwegayiridde, Samwiri bye yabagamba. 16#1 Sam 9:20Sawulo n'agamba kojjaawe nti Yatubuulirira ddala ng'endogoyi zirabise. Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako.
17 #
1 Sam 7:5,16 Samwiri n'ayita abantu n'abakuŋŋaanyiza eri Mukama e Mizupa; 18#Kuv 20:2, Balam 6:8,9, 1 Sam 12:8n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Naggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga: 19#Yos 24:1, 1 Sam 8:7,19; 12:12naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti Nedda naye ssaawo kabaka atufuge. Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe bwe biri, era ng'enkumi zammwe bwe ziri. 20#Yos 7:14,16,17, Bik 13:21Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri, ekika kya Benyamini ne kitwalibwa. 21N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri n'etwalibwa: Sawulo mutabani wa Kiisi n'atwalibwa; naye bwe baamunoonya, ne batayinza kumulaba. 22Awo ne beeyongera okubuuza Mukama nti Ekyasigaddeyo omusajja ow'okujja eno? Mukama n'addamu nti Laba, yeekwese mu bintu. 23#1 Sam 9:2Ne badduka mbiro ne bamuggyayo; awo bwe yayimirira mu bantu, ng'asinga abantu bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye n'okwambuka. 24#2 Sam 16:16, 2 Bassek 11:12, 2 Byom 23:11Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bnatu bonna? Abantu bonna ne boogerera waggulu ne boogera nti Kabaka abeere omulamu.
25 #
Kuv 17:14, Ma 17:14-020, Yos 24:26, 1 Sam 8:11-18 Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika, mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asindika abantu bonna bagende buli muntu mu nnyumba ye. 26#1 Sam 11:4; 15:34Ne Sawulo naye n'agenda mu nnyumba e Gibea; ne wagenda naye eggye Katonda be yali akomyeko ku mitima gyabwe. 27#Ma 13:13, 1 Sam 2:12; 11:12Naye ne wabaawo abaana ba Beriali abaayogera nti Omusajja oyo alitulokola atya? Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika.
Currently Selected:
1 Samwiri 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.