Okuva 35:30-31
Okuva 35:30-31 EEEE
Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. MUKAMA alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda. MUKAMA amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri





