Yoswa Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kya Yoswa kinnyonnyola ekigendererwa kya Katonda mu bintu byonna ebyaliwo nga Isiraeri ewamba era nga ekkalira mu Kanani. Ebyo byonna byali bituukiriza Katonda bye yasuubiza Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Kino kyali kyetaagisa nnyo eri Abaisiraeri abali basenga mu Kanani era n'abantu ba Katonda ab'emirembe egiriddirira. Ekitabo kya Yoswa kyekiddirira ebitabo ebisooka ebitaano ebiyitibwa eby'Amateeka, era nga ddala kijjuliriza ebiri mu bitabo ebyo. Ebitabo ebyo biraga nga Katonda yasuubiza bajjajja ba Isiraeri n'abaana baabwe okubawa omukisa, era nabo babeere mukisa eri abalala, ate abawe n'ensi eyabwe ku bwabwe, era abaaze babeere mu ndagaano naye. Ebitabo ebitaano webigwerako nga Isiraeri ggwanga eriri mu ndagaano ne Katonda, nga baaze, naye nga bali mu nsenyi za Mowaabu. Yoswa ajja okukulembera abantu ba Katonda abayingize mu nsi ensuubize, agibagabanyize, balyoke bagituulemu.
Ebiri mu kitabo
I. Abaana ba Isiraeri beetegeka okuyingira mu nsi ensuubize (1:1—5:15).
II. Abaana ba Isiraeri batwala ensi ye Kanani (6:1—12:24).
III. Engabanya y'ensi (13:1—21:45).
IV. Okuweereza Katonda mu nsi ensuubize (22:1—24:33).
Currently Selected:
Yoswa Ennyanjula: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.