YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 7

7
Eddiini enkyamu n'abantu abasinza ebitali Katonda (7:1—10:25)
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti, 2“Yimirira mu mulyango gw'ennyumba ya Mukama, olangiririre eyo ekigambo kino, oyogere nti, Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abantu ba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama.#Yer 18:11; 26:13 3Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe, nange ndibaleka okutuula mu kifo kino. 4Temwesiganga bigambo bya bulimba nti, ‘Eno ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama, ye Yeekaalu ya Mukama.’” 5“Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe; bwe munaabeeranga abenkanya buli muntu eri munne;#Yer 22:3 6bwe mutaajoogenga mugenyi n'atalina kitaawe ne nnamwandu, so ne mutayiwa musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, era bwe mutatambulenga kugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini;#Ma 6:14; 24:14 7kale ndibaleka okutuula mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw'edda bwonna okutuusa emirembe gyonna.” 8“Laba, mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitayinza kugasa.#Ma 4:40 9Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby'obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga,#Kos 4:2 10ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno eyatuumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti, ‘Tuwonyezebbwa!’ mulyoke mukole emizizo egyo gyonna?#Yer 32:34 11Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y'abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw'ayogera Mukama.#Is 56:7, Mak 11:17 12Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw'obubi bw'abantu bange Isiraeri.#Balam 18:31, 1 Sam 1:3; 4:3-12, Zab 78:60, Yer 26:6 13Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw'ayogera Mukama, ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba; 14kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange, gye mwesiga, n'ekifo kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro.#Ma 12:5, 1 Bassek 9:7 15Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.”#2 Bassek 17:6,23, Kos 5:9
Obujeemu bwa bantu
16“Kale tosabiranga bantu bano, so tobayimusirizanga kukaaba kwabwe, newakubadde okusaba kwabwe, so tonneegayiriranga, kubanga siikuwulire.#Kuv 32:10, Yer 11:14; 14:11, 1 Yok 5:16 17Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi? 18Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumbira kabaka w'eggulu omukazi emigaati, n'okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa balyoke bansosonkereze okusunguwaza.#Ma 32:16,21, 1 Bassek 14:9; 16:2, Yer 11:17; 19:13; 44:17,19 19Nze gwe basosonkereza? Bw'ayogera Mukama; Si nze naye tebeeswaza bo bennyini?#Yob 35:6, Yer 51:51 20Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Laba, obusungu bwange n'ekiruyi kyange kirifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy'omu ttale ne ku bibala eby'ettaka; era bulibuubuuka so tebulizikizibwa.”#2 Byom 34:25, Yer 17:27; 44:6
Katonda ajjukiza abaana ba Isiraeri
21Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama.#Yer 6:20 22Kubanga ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri, ssaayogera ne bajjajjammwe era n'okubalagira eby'ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.#Kos 6:6 23Naye kino kye nnabalagira nti, ‘Muwulirenga eddoboozi lyange, nange n'abanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange; era mutambulirenga mu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’#Leev 26:12, Ma 5:33; 6:3, Yer 11:4,7 24Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi, ne badda emabega so tebeeyongera mu maaso.#Zab 81:11,12, Yer 2:19; 15:6 25Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey'e Misiri ne leero, n'abatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma;#2 Byom 36:15,16 26era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne baakola obubi okusinga bajjajjaabwe.”#Yer 16:12
Katonda akuutira Yeremiya
27“Era olibagamba ebigambo bino byonna; naye tebaalikuwulira; era olibakoowoola, naye tebaalikuyitaba. 28Era olibagamba nti,‘ Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa; amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.’ ”#Yer 9:3
Ebikolwa eby'obutemu mu kiwonvu
29Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku ntiko ze nsozi; kubanga Mukama asudde abantu ab'omu mirembe olw'obusungu bwe, era abaleseeyo.#Yob 1:20 30“Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw'ayogera Mukama, batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona.#2 Bassek 21:5,7, Yer 32:34, Ez 5:11 31Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby'e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekiyingirangako mu birowoozo byange.#2 Bassek 23:10, Zab 106:38, Yer 31:40 32Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro; kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.#Yer 19:6,11, Ez 6:5 33N'emirambo gy'abantu bano giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaliba alizisaggula.#Ma 28:26, Yer 12:9 34Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'essanyu, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, kubanga ensi erifuuka matongo.”#Leev 26:31,33, Is 24:7,8, Yer 16:9; 44:6, Ez 26:13, Kub 18:22,23

Currently Selected:

Yeremiya 7: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in