YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 6

6
Yerusaalemi kyetooloddwa abalabe
1Mudduke muwone, mwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, muwanike akabonero ku Besukakkeremu, kubanga obubi buva e bukiikakkono, n'okuzikirira okunene.#Yer 1:14 2Omukkakkamu era eyakuzibwa n'obwegendereza, ndizikiriza omuwala wa Sayuuni.#2 Bassek 19:12 3Abasumba n'ebisibo byabwe balijja okumulumba; balisimba eweema zaabwe okumwetooloola, baaliriisa ebisibo byabwe, buli muntu mu kifo kye ye.#Yer 4:17 4“Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulumbe mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bugenda, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi biwanvuwa.”#Yer 15:8 5“Muyimuke tulumbe kiro, tuzikirize embiri ze.” 6Kubanga Mukama ow'eggye ayogedde bw'ati nti, “Muteme emiti mutuume entuumo, ku Yerusaalemi. Kino kye kibuga ekiteekwa okubonerezebwa, kubanga temuli kirala wabula okunyigirizibwa mu kyo.#Ma 20:20 2 Bassek 19:32, Ez 26:8, Luk 19:44 7Ng'amazzi bwe gakulukuta okuva mu luzzi, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo; ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo.#Zab 55:9, Ez 7:11,23 8Olabulwa ggwe Yerusaalemi, nneme okwawukana naawe; era nneme okukufuula amatongo, ensi omutali bantu.”#Ez 23:18
Aba Isiraeri bajeemu
9Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Kungulira ddala ng'omuzabbibu abasigaddewo mu Isiraeri, ng'omunozi w'ezabbibu, zza nate omukono gwo mu matabi gaagwo.” 10Ani gwe mba njogera naye, era gwe nnalabula, alyoke awulire? Laba amatu gaabwe gagaddwa, era tebayinza kuwuliriza; laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.#Is 28:9, Yer 7:26, Bik 7:51 11Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okukizibiikiriza. “Ekiruyi kiyiwe ku baana abato mu luguudo, wamu ne ku bavubuka abakkuŋŋaanye. Bombi omusajja ne mukazi we balitwalibwa, omukulu n'omukadde ennyo.”#Yer 9:21; 20:9, Kung 2:21 12N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange, ne mbonereza bonna abali mu nsi, bw'ayogera Mukama.#Yer 8:10-12 13“Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya.#Is 56:11, Yer 5:31; 31:34; 44:12, Yon 3:5, Mi 3:11 14Bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga emirembe tewali#Is 48:22, Yer 14:13; 23:17, Ez 13:10, Mi 3:5 15Baakwatibwa ensonyi bwe baakola eby'emizizo? Nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaamanya na kuswala. N'olwekyo kyebaliva bagwira mu abo abagwa; mu kiseera kye ndibabonerezaamu, mmwe balisiguukululirwa;” bw'ayogera Mukama.#Yer 3:3; 8:12
Isiraeri agaana ekkubo Katonda ly'amulaga
16Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo. Naye ne boogera nti, ‘Tetuutambulire omwo.’#Is 8:20, Yer 18:15, Mat 11:29, Luk 16:29 17Ne mbateekako abakuumi ne mbagamba nti, ‘Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere!’ Naye ne boogera nti, ‘Tetuuwulirize.’#Is 58:1, Yer 4:19; 44:16 18Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiribatuukako. 19Wulira, ggwe ensi; laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulirizza bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.#Nge 1:31 20Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, oba emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tezinsanyusa.#Zab 40:6, Is 1:11, Am 5:21 21Mukama kyava ayogera bw'ati nti,‘ Laba, nditeeka mu maaso g'abantu bano, enkonge ze bannesittalako; bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, muliraanwa n'owo mukwano balizikirira.’ ”#Ez 3:20
Okulumbibwa abava mu bukiikakkono
22Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiikakkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi.#Yer 25:32; 50:41-43 23Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liringa okuwuuma kw'ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala, ng'omusajja bw'atalira olutalo, era beetegese okulwana naawe, ayi omuwala wa Sayuuni!” 24Tuwulidde ettutumu lyalyo; emikono gyaffe ne ginafuwa, obubalagaze butukutte era n'okulumwa ng'omukazi alumwa okuzaala.#Is 13:8, Yer 38:4, Ez 7:17; 21:7, Kos 4:2 25Temugenda mu ttale, wadde okutambulira mu kkubo; kubanga eriyo ekitala eky'omulabe n'entiisa enjuyi zonna.#Yob 18:11, Zab 31:13, Yer 20:3, Kung 2:22 26Ayi omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu; kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omuzikiriza alitujjira nga tetumanyiridde.#Yer 4:8; 25:34, Kung 3:16, Am 8:10, Zek 12:10 27“ Nkufudde agezesa ebyuma, abantu bange balinga ebyuma; obagezese olyoke omanye, era okeme ekkubo lyabwe.#Yer 1:18; 9:7 28Bonna bajeemu abatalabwa, era batambula nga bawaayiriza; bagumu nga ebikomo oba ebyuma; bonna bakola bikyamu.#Leev 19:16, Yer 9:4, Ez 22:18,20 29Omuliro gwaka nnyo mu kabiga, ekyuma ne kisaanuuka, naye ebiteetaagibwamu tebyesengejjamu, bateganira bwereere okulongoosa, kubanga ababi tebasimbulibwawo.#Is 1:22 30Baliyitibwa masengere ga ffeeza, kubanga Mukama abagaanyi.”

Currently Selected:

Yeremiya 6: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 6