Yeremiya 5
5
Ekibi kya Yerusaalemi
1Mudduke eruuyi n'eruuyi mu nguudo e'ze Yerusaalemi, mulabe nno, mumanye, munoonyeze mu bifo byamu ebigazi oba nga munaayinza okulaba omuntu, oba nga waliwo n'omu akola eby'ensonga, anoonya amazima; kale nnaakisonyiwa.#Lub 18:23-32, 2 Byom 16:9 2Era wadde boogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu,” naye mazima balayira bya bulimba.#Tit 1:16 3Ayi Mukama, amaaso go tegatunuulira mazima? Obakubye, naye ne batanakuwala; obamazeewo, naye bagaanyi okubuulirirwa; bakakanyazizza obwenyi bwabwe okukira olwazi; bagaanyi okudda okwenenya.#Yer 2:30; 7:28, Ez 3:8, Zef 3:2 4Awo ne njogera nti, “Mazima bano baavu, basirusiru; kubanga tebamanyi kkubo lya Mukama newakubadde amateeka ga Katonda waabwe. 5N'agenda eri abakulu ne njogera nabo; kubanga bo bamanyi ekkubo lya Mukama, n'amateeka ga Katonda waabwe. Naye bonna awamu bamenye ekikoligo n'omwoyo gumu ne bakutula ebisiba.#Zab 2:3, Mi 3:1 6Empologoma eva mu kibira kyeriva ebatta, omusege ogw'ekiro gulibanyaga, engo eriteegera mu bibuga byabwe, buli muntu ava omwo anaataagulwataagulwanga; kubanga okusobya kwabwe kungi n'okuseeseetuka kwabwe kweyongedde.”#Yer 4:7, Kos 13:7, Kaab 1:8 7“ Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali bakatonda. Bwe nnabaliisa okukkuta ne bayenda, ne bakuŋŋaanira ku nnyumba z'abakazi ab'enzi nga bali mu bibinja.#Ma 32:15, Yos 23:7, Yer 9:2 8Baali ng'embalaasi ezaaliisibwa obulungi, buli muntu ng'akayanira mukazi wa munne.#Yer 13:27, Ez 22:11 9Siribabonereza olw'ebyo?” Bw'ayogera Mukama, “era siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?”#Bar 2:2
Ekiragiro ky'okuzikiriza
10“Muyite wakati mu mizeyituuni gye, mugizikirize, naye temugimalirawo ddala; muggyeewo amatabi gaagyo, kubanga si ga Mukama. 11Kubanga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bankuusizzakuusizza nnyo nnyini, bw'ayogera Mukama. 12Beegaanyi Mukama ne boogera nti, ‘Si ye; so obubi tebulitujjira; so tetuliraba kitala newakubadde enjala.#Lub 3:4, Yer 14:13 13Bannabbi balifuuka mpewo, so nga n'ekigambo tekiri mu bo, bwe batyo bwe balikolebwa.’ ”
Katonda asala omusango
14Mukama Katonda ow'eggye kyava ayogera nti, “Kubanga boogedde ekigambo ekyo, laba, ndifuula ebigambo byange mu kamwa ko okuba omuliro n'abantu bano okuba enku, era gulibookya.#Yer 1:9,10, Zek 12:6, Kub 11:5 15Laba, ndireeta ku mmwe eggwanga eririva ewala, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama, ggwanga lya maanyi, ggwanga lya dda, eggwanga ly'otomanyiiko lulimi, so totegeera bye boogera.#Ma 28:49, Is 33:19, Am 6:14 16Omufuko gwabwe ntaana eyasaamiridde, bonna basajja ba maanyi.#Is 5:28 17Era balirya ebikungulwa byo n'emmere yo, batabani bo ne bawala bo bye bandiridde; balirya embuzi zo n'ente zo, balirya emizabbibu gyo n'emitiini gyo, balimenyaamenya n'ekitala ebibuga byo ebiriko enkomera bye weesiga.”#Ma 28:31, Kos 8:14 18“Era naye ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, siribasaanyizaawo ddala. 19Awo olulituuka abantu bwe balibabuuza nti, ‘Mukama Katonda waffe kiki ekimukozezza ffe ebyo byonna?’ Kale n'olyoka obagamba nti, ‘Nga mmwe bwe munvuddeko ne muweerereza bakatonda ba bannamawanga mu nsi yammwe, bwe mutyo bwe munaaweererezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ”#Ma 28:47,48, 1 Bassek 9:8,9, Yer 16:10,11
Mukama alabula abantu be
20Mulangirire kino mu nnyumba ya Yakobo, mukirangirire mu Yuda, nti, 21“Muwulire nno kino, mmwe abantu abasirusiru era abatalina kutegeera; abalina amaaso naye temulaba; abalina amatu naye temuwulira.#Ma 32:6, Is 6:9, Mat 13:14 22Temuntya? bw'ayogera Mukama; Temuunkankanira? N'ateeka omusenyu okuba ensalo y'ennyanja olw'ekiragiro ekitaliggwaawo, n'okuyinza n'eteyinza kugusukkako; era amayengo gaayo ne bwe geesuukunda, naye tegayinza kuwagula; ne bwe gawuuma, naye tegayinza kugusukkako.#Yob 38:10,11, Zab 46:3; 104:9, Yer 10:7 23Naye abantu bano balina omutima omuwaganyavu era omujeemu; bajeemye bagenze. 24So teboogera mu mutima gwabwe nti, ‘Tutye nno Mukama Katonda waffe awa enkuba, eya ddumbi ne ttoggo, mu ntuuko zaayo; atuterekera Ssabbiiti ez'ebikungulwa ezaateekebwawo.’#Lub 8:22, Ma 11:14, Yer 14:22, Mat 5:45, Bik 14:17 25Obutali butuukirivu bwammwe bwe bubagyeeko ebyo, n'ebibi byammwe bye bibaziyiriza ebirungi.#Yer 3:3 26Kubanga abasajja ababi baasangibwa mu bantu bange; balabirira ng'abatezi b'ennyonyi bwe batega; batega omutego, era bakwasa bantu.#Zab 10:9; 124:7, Nge 1:11 27Ng'ekisero bwe kijjula ennyonyi, ennyumba zaabwe bwe zijjula bwe zityo obulimba; kyebavudde bafuuka abakulu ne bagaggawala. 28Bagezze, banyiridde, weewaawo, basukkiriza ebikolwa eby'obubi; tebasala misango mu mazima, amazima g'oyo atalina kitaawe, balyoke balabe omukisa; so tebasalira baavu musango gwabwe.#Ma 32:15, Is 1:23, Yer 7:6 29Siribabonereza olw'ebyo? Bw'ayogera Mukama. Siriwalana ggwanga ku ggwanga erifaanana bwe lityo?”
30Ekigambo eky'ekitalo era eky'ekivve kituukiridde mu nsi;#Yer 23:14 31bannabbi balanga bya bulimba, ne bakabona bafuga nga bwe baagala; n'abantu bange baagala kibeere bwe kityo, naye mulikola mutya nga enkomerero etuuse?#Yer 6:13; 14:18, Mi 2:11, Yer 8:10-12
Currently Selected:
Yeremiya 5: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: