Yeremiya 4
4
Abaisiraeri bayitibwa okwenenya
1“Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda. Bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka;#Yo 2:12 2awo olirayiranga nti, Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.”#Ma 6:13, Zab 72:17, Is 65:16, 1 Kol 1:31
Yuda okuzikirizibwa
3Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa#Kos 10:12, Mak 4:7 4Mwekomole eri Mukama, muggyeewo ebikuta eby'emitima gyammwe, era mwetukuze eri Mukama, mmwe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi; ekiruyi kyange kireme okufuluma ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.”#Ma 10:16; 28:20, Yer 9:26, Bar 2:28,29 5Mulangirire mu Yuda, mulaalike mu Yerusaalemi; mwogere nti, “Mufuuwe ekkondeere mu nsi; mwogerere waggulu mwogere nti, ‘Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera!’#Yer 6:1; 8:14, Kos 5:8 6Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni, mudduke muwone, temulwawo, kubanga ndireeta obubi obuliva obukiikakkono n'okuzikiriza okunene.”#Yer 1:14 7Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo abizise obutabaamu abibeeramu.#Yer 2:15 8Olw'ekyo mwambale ebibukutu, mukungubage muwowoggane, kubanga ekiruyi kya Mukama tekikyuse okutuvaako.#Zab 78:49, Is 13:9-13; 22:3, Kung 2:10 9“Awo olulituuka ku lunaku olwo,” bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya. 10Awo ne ndyoka njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti, ‘Muliba n'emirembe;’ naye ekitala kituutuuka ku mmeeme.”#1 Bassek 22:22, Ez 14:9 11Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti, “Embuyaga ez'olubugumu eziva ku ntikko ze nsozi enjereere mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa; 12embuyaga nnyingi, eziva ku ezo zirijja ku lwange. Kaakano nze kennyini nnaangirira emisango ku bo.”#Yer 1:16
Yuda yeetooloddwa abalabe
13Laba, ajja ng'ebire, n'amagaali ge galiba ng'empewo ez'akazimu; embalaasi ze za mbiro okukira empungu. Zitusanze! Kubanga tuzikiridde.#Is 5:28 14Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu obubi, olyoke olokoke. Ebirowoozo byo ebibi birituusa wa okubeera mu nda yo?#Zab 51:2,7, Is 1:16, Yak 4:8 15Kubanga eddoboozi lirangirira nga lisinzira e Daani, era liraarika obubi nga lisinzira ku nsozi za Efulayimu.#Yer 8:16 16Mulabule amawanga nti, ajja; mulaalike Yerusaalemi nti, “Ababazingiza bava mu nsi ey'ewala, bawowoganira ebibuga bya Yuda n'eddoboozi lyabwe. 17Bakyetoolodde enjuyi zonna ng'abakuuma ennimiro; kubanga kyanjeemera,” bw'ayogera Mukama.#2 Bassek 25:1-4, Yer 6:3 18Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikuleetedde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo.#Is 50:1, Yer 2:19
Yeremiya anakuwala olw'abantu be
19“Obulumi bwange, Obulumi bwange!” Omutima gwange gunnuma munda mwennyini; omutima gwange gweraliikiridde munda yange; siyinza kusirika; kubanga owulidde ayi emmeeme, eddoboozi ly'ekkondeere, ery'olutalo nga liraya.#Yer 9:1, Kaab 3:16 20Okuzikirizibwa okuddirirwa okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna eyonooneddwa, amangu ddala eweema zange zonooneddwa, n'entimbe zange mu kaseera bu seera.#Yer 10:20, Ez 7:26 21Ndituusa wa okulaba ebendera y'olutalo, n'okuwulira eddoboozi ly'ekkondeere? 22Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole by'abaana, so tebalina kutegeera, ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya.#Zab 36:3, Is 1:3,16,17, Bar 16:19
Yeremiya alengera okuzikirira okugenda okujja
23Nnalaba ensi, laba nga njereere, era nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga tekuli kitangaala.#Lub 1:2, Is 5:30 24Nnalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n'eruuyi.#Nak 1:5 25N'atunula, era, laba, nga tewali muntu, n'ennyonyi zonna ez'omu bbanga nga zidduse.#Zef 1:3 26N'atunula, era, laba, ennimiro engimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga biri mu matongo olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye.#Zab 107:34 27Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Ensi yonna eriba nsiko; naye sirigisaanyizaawo ddala.”#Nek 9:31, Yer 5:18 28Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala, kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sigenda kukyejjusa, so siridda mabega okukireka.#Kubal 23:19, Is 50:3, Kos 4:3 29Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja; buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo. 30Naawe ggwe eyalekebwawo otegeeza ki bw'oyambala olugoye olutwakaavu, ne weeyonja n'ebintu ebya zaabu, n'okanula amaaso ng'osiigako langi? Omala biseera nga weeyonja; baganzi bo bakunyooma; banoonya obulamu bwo.#2 Bassek 9:30, Kung 1:2,19, Ez 23:22 31Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni asika omukka, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti, “Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.”#Is 1:15; 13:8, Kung 1:17
Currently Selected:
Yeremiya 4: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.