YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 30

30
Okuzibwawo kwa Yuda ne Isiraeri (30:1—33:26)
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti, 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkubuulidde.#Yer 36:2, Kaab 2:2 3Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndizaawo emikisa gy'abantu bange Isiraeri ne Yuda, era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era eriddamu okuba eyaabwe.”#Is 11:12,13, Yer 16:15; 29:14, Kos 1:11, Kaab 2:3
4Era bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isiraeri, ne Yuda nti, 5“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, tuwulidde eddoboozi ery'okukankana, n'ery'okutya, sso si lya mirembe. 6Mubuuze nno mulabe; omusajja ayinza okulumwa okuzaala? Lwaki kale ndaba buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina, ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwaki amaaso gonna gaperuse?#Is 13:8, Dan 12:1, Yo 2:11, Zef 1:14 7Woowe! kubanga olunaku olwo olukulu lujja so tewali lulwenkana; kiriba kiseera Yakobo mw'alirabira ennaku; naye alirokoka mu zo.” 8“Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo ekiri mu nsingo yaabwe, era ndikutula enjegere ezibasibye; era bannamawanga nga tebakyabafuula baddu nate.”#Yer 27:2, Ez 34:27, Nak 1:13 9Naye baliweereza Mukama Katonda waabwe, ne Dawudi kabaka, gwe ndibayimusiriza.#Is 55:3,4, Yer 23:5, Kos 3:5, Luk 1:69,70, Bik 13:22,23 10“Kale totya, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ayi Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, n'ezzadde lyo okuva mu nsi gye mwasibirwa; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alibeera mirembe, so tewaliba alimutiisa.#Is 43:5, Yer 42:11; 46:27,28 11Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola; kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalirawo ddala, naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.”#Yer 10:24
12“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ebbwa lyo teriwonyezeka, n'ekiwundu kyo si kya kitalo.#Yer 10:19; 15:18 13Tewali wa kukuwolereza, tewali ddagala ery'ekiwundu kyo, togenda kuwonyezebwa.#Yer 46:11 14Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakyakufaako; kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, mbabonerezza n'obukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne ebibi byo byeyongedde.#Yob 13:24; 30:21, Is 63:10, Kung 1:2 15Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? Obulumi bwo tebuwonyezeka, kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne bibi byo byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo.#Yer 5:6 16Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu busibe; n'abo abakunyaga, baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga, ndibagabula okuba omuyiggo.#Kuv 23:22, Is 33:1; 41:11, Yer 10:25 17Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti, ‘Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atakyafaako!’#Zab 6:2, Yer 33:6, Kos 6:1 18Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndizzawo obulungi bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze, n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, era n'olubiri lulizzibwa we lwali.#Am 9:11 19Okuva mu bo muliva ennyimba ez'okwebaza, n'amaloboozi g'abo abasanyuka. Ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebalitoowazibwa.#Yer 33:11, Ez 36:10 20Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga. 21N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga, aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi, kubanga ani eyali ayaŋŋaanze okunsemberera? Bw'ayogera Mukama.#Lub 49:10, Kubal 16:5, Yer 49:19, Beb 5:4 22Nammwe munaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe.”#Leev 26:12, Yer 24:7; 31:1; 32:38
23Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, alikuntira ku mutwe gy'ababi. 24Obusungu bwa Mukama omukambwe tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza n'okukomekkereza omutima ebigendererwa by'omutima gwe. Mu nnaku ez'oluvannyuma mwe mulikitegeera bulungi.#Yer 23:19,20

Currently Selected:

Yeremiya 30: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 30