Yeremiya 3
3
Eggwanga lya Isiraeri eritali lyesigwa
1“Singa omusajja agoba mukazi we, omukazi naye n'amuvaako n'aba ow'omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? Ensi eyo eba teyonoonese nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo abangi; era naye kati onoonzirira nate?” Bwayogera Mukama#Ma 24:1-4 2Yimusa amaaso go eri ensozi enjereere olabe; waliwo ekifo we batasulirangako naawe? Ku mabbali g'ekkubo, waatuulanga ng'olindirira baganzi bo, ng'Omuwalabu bw'ateega abantu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo.#Ez 16:25 3Empandaggirize kyezivudde ziziyizibwa, so tewabaddeewo ttoggo; era naye n'oba n'ekyenyi eky'omwenzi, wagaana okukwatibwa ensonyi.#Ma 28:24, Yer 6:15; 8:12 4“Obadde tewakankoowoola nti, ‘Kitange, ggwe oli mukwano gwange owo mu buto bwange? 5Onooguguba n'obusungu bwo emirembe gyonna?’ Oliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe.”#Zab 103:9
Isiraeri ne Yuda zeenenye
6Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti, “Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? Alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi.#Yer 2:20 7Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, ‘Alinzirira;’ naye n'atadda; ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba.#Ez 16:46; 23:4 8Yuda yalaba nga olw'obwenzi bwa Isiraeri eyaseeseetuka, nnamugoba ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba, era naye mwannyina Yuda ow'enkwe n'atatya; naye era n'agenda ne yeefuula omwenzi.#2 Bassek 17:19, Kos 1:6,9, Mat 19:7 9Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda, yayonoona ensi, n'ayenda ku mayinja ne ku bikonge.#Yer 2:27 10Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow'enkwe Yuda tanziridde n'omutima gwe gwonna, naye n'asigala ng'akuusakuusa,” bw'ayogera Mukama. 11Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Isiraeri eyaseeseetuka yeeraze okuba omutuukirivu okukira Yuda ow'enkwe.”#Ez 16:51,52 12Genda olangire ebigambo bino ng'otunuulira obukiikakkono, oyogere nti, “Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka,” bw'ayogera Mukama. “Siibatunuulire n'obusungu, kubanga nnina okusaasira,” bw'ayogera Mukama, “siriguguba na busungu emirembe gyonna.#Ma 30:1-10, Zab 86:5,15 13Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n'osaasaanyiza okwagala kwo eri abagenyi, wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange,” bw'ayogera Mukama. 14“Mukomewo, mmwe abaana abadda emabega,” bw'ayogera Mukama, “kubanga nze bbammwe, era ndibatwala nga nzigya omu mu kibuga n'ababiri mu kika, ne mbaleeta e Sayuuni;#Is 54:5, Kos 2:19 15era ndibawa abasumba ng'omutima gwange bwe guli abalibaliisa n'okumanya n'okutegeera.”#Yer 23:4, Ez 34:23, Bik 20:28 16Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti, “Essanduuko ey'endagaano ya Mukama,” so teriyingira mu mwoyo gwabwe; nga tebakyagijjukira wadde okugyetaaga; era nate tewaliba ndala erikolebwa. 17Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi, so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli.#Is 2:2; 60:9, Yer 7:24; 9:14; 11:8 18Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n'ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey'obukiikakkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika.#Is 11:13, Yer 16:15; 50:4, Kos 1:11, Am 9:15
Obutali bwesigwa bwa Isiraeri
19“Nnalowooza engeri gy'enkuteeka mu batabani bange, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu mawanga gonna. Era nnalowooza nti mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera.#Is 63:16 20Mazima omukazi nga bw'ava ku bba ng'asala olukwe, bwe mutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Isiraeri.” 21Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi enjereere, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe.#Yer 31:9 22“Mukomewo, mmwe abaana abaseeseetuse, nange n'awonya okuseeseetuka kwammwe.” “Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe#Yer 30:17 23Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, n'oluyoogaano oluli ku nsozi teruliimu; mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri.#Zab 3:8; 121:1,2 24Naye okuviira ddala edda mu buto bwaffe, ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe, embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe. 25Tugalamire nga ensonyi zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko; kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero, so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”#Ezer 9:6,7, Ez 2:3
Currently Selected:
Yeremiya 3: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.