YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 2

2
Isiraeri amenya endagaano (2:1—6:30)
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti, 2“Genda oyogerere waggulu nga bonna mu Yerusaalemi baawulira nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Nkujjuukirira ku kwewaayo okw'obuvubuka bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisigiddwa.#Ma 2:7, Ez 16:8,43,60, Kub 2:4 3Isiraeri, wali wange nzekka. Wali mutukuvu, ebibala ebibereberye eby'ebikungulwa byange; nga bonna abakulumya baba bazzizza omusango; era nga obubi bubatuukako, bw'ayogera Mukama.”#Kuv 28:36, Yer 12:14, Yak 1:18
Ekibi kya bajjajja b'Abaisiraeri
4Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, n'ebika byonna eby'ennyumba ya Isiraeri. 5Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda ne bagenda wala okunvaako, ne batambula okugoberera ebitaliimu ne bafuuka abataliimu nsa?#2 Bassek 17:15, Is 5:4, Yer 18:15, Mi 6:3 6So tebeebuza nako nti, ‘Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gyatayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?’#Ma 8:15; 32:10, Is 63:11-13 7Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo.#Leev 18:24,25, Ma 8:7-10, Zab 106:38 8Bakabona tebeebuuza nti, Mukama ali ludda wa? N'abo abakuumi b'amateeka tebammanya; era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne boogera ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitagasa.”
Omusango Mukama gw'avunaana abantu be
9“Kyennaava neeyongera okuwoza nammwe,” bw'ayogera Mukama, “era ndiwoza n'abaana b'abaana bammwe.#Ez 17:20 10Kale muwunguke mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; mutume e Kedali, mwetegereze nnyo; mulabe oba nga waali wabaddewo ekigambo ekyenkana awo. 11Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baalyo, newakubadde nga si bakatonda ddala? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitagasa.#Zab 106:20, Is 37:19, Yer 16:20, Bag 4:8 12Ggwe eggulu samaalirira olw'ekyo, otye ekitatiika, owuubaale nnyo,” bw'ayogera Mukama.#Is 1:2 13“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ebitayinza kubaamu mazzi.”#Zab 36:9, Yer 17:13, Yok 4:10
Ekivudde mu bibi by'Abaisiraeri
14“Isiraeri muddu? Muddu eyazaalibwa mu nnyumba? Kale kiki ekimufudde omuyiggo?#Kuv 4:22 15Empologoma ento zimuwulugumiddeko ne zivuuma, ne zizisa ensi ye, ebibuga bye matongo, tewali abituulamu.#Is 19:13, Yer 43:7-9; 44:1 16Era abaana ba Noofu ne Tapanesi baasiza engule ku mutwe gwo. 17Teweereeseeko ekyo kubanga olese Mukama Katonda wo, eyakuluŋŋamiza mu kkubo?#Yer 4:18 18Kale nno ogasibwa ki mu kugenda e Misiri okunywa amazzi ga Kiyira? Oba ogasibwa ki mu kugenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga Fulaati?#Is 8:7; 23:3; 30:1,2, Yer 2:36, Kos 7:11 19Obubi bwo ggwe buli kubonereza, era n'okuseeseetuka kwo kulikunenya. Manya era olabe nti kigambo kibi era kya bubalagaze, ggwe okuleka Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.#Is 3:9, Yer 3:22; 5:6; 14:7, Kos 5:5
Abaisiraeri bagaana okusinza Mukama
20“Kubanga edda ennyo wamenya ekikoligo kyo, n'okutula ebisiba byo, n'oyogera nti, ‘Sijja kuweereza.’ Kubanga wakutama ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi.#Is 1:21; 57:5, Yer 3:2; 17:2; 30:8 21Songa nali nkusimbye ng'omuzabbibu omulungi, ensigo ey'amazima ameereere. Kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw'omuzabbibu ogw'omu nsiko?#Zab 80:8, Is 5:2 22Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange,” bw'ayogera Mukama Katonda.#Yob 9:30, Yer 17:1 23“Oyinza otya okwogera nti, ‘Ssoonoonese, ssiigobereranga Babaali?’ Laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro eyitaayita mu makubo gaayo;#Yer 7:31,32 24entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? Zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo.#Yer 14:6 25Tokooya bigere byo, era toleka mumiro gwo kulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti, ‘Tewali ssuubi, kubanga njagadde bannamawanga, era be ndigoberera.’”#Ma 29:5, Yer 3:13 26“Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi, nga bamukutte, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'etyo; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe;#Yer 32:32 27abagamba ekikonge nti, ‘Ggwe kitange,’ n'ejjinja nti, ‘Ggwe onzaala.’ Kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe, naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti, ‘Golokoka otulokole.’#Balam 10:9,10, Is 26:16 28Naye bakatonda bo be weekoledde bali ludda wa? Bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku, kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ggwe Yuda.”#Ma 32:37,38, Is 45:20, Yer 11:13
Abaisiraeri basaanidde okubonerezebwa
29“Kiki ekibaagaza okuwoza nange? Mwenna munjeemedde,” bw'ayogera Mukama. 30“Abaana bammwe newakubadde n'ababonereza, naye tebaganyizza kubuulirirwa; ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza.#Yer 5:3 31Mmwe ab'omu mirembe gino, mwetegereze ekigambo kya Mukama. N'abanga ddungu eri Isiraeri? Oba nsi ya kizikiza ekikutte? Abantu bange ekiboogeza ki nti, ‘Tuli ba ddembe; tetukyajja gy'oli nate?’ 32Omuwala ayinza okwerabira eby'obuyonjo bye, oba omugole ebyambalo bye? Naye abantu bange banneerabidde, ennaku nnyingi ezitabalika.#Ma 32:18, Is 17:10; 61:10, Kos 8:14 33Nga bwolongoosa ekkubo lyo okunoonya okwagalibwa! bw'otyo kyovudde oyigiriza n'abakazi ababi amakubo go. 34Era ku birenge byo kusangiddwako omusaayi gw'abaavu abataliiko musango; era b'otokwata nga balina kye bamenya. Kyokka ku bino byonna,#Kuv 22:2, 2 Bassek 21:16, Zab 106:38 35era naye oyogera nti, ‘Siriiko musango; mazima obusungu bwa Mukama bukyuse okunvaako.’ Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti, ‘Ssoonoonanga.’#Zab 143:2, Nge 28:13, 1 Yok 1:8,10 36Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwanyisa ekkubo lyo? Oliswazibwa Misiri, nga bwe waswazibwa Bwasuli.#Is 30:3, Yer 31:22 37Era ne gy'oli olivaayo nga weetisse emikono, kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.”#2 Sam 13:19

Currently Selected:

Yeremiya 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in