Okuva 14
14
1Mukama n'agamba Musa, ng'ayogera nti, 2“Bagambe abaana ba Isiraeri badde emabega basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni; emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.#Kubal 33:7 3Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti, ‘Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye.’ 4Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera emabega waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama.” Bwe batyo bwe baakola.#Kuv 4:21; 7:5 5Ne bagamba kabaka w'e Misiri nti abantu badduse; omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?” 6N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye; 7n'atwala amagaali lukaaga (600) amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna. 8Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, kabaka w'e Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri; kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana.#Kuv 13:3 9Abamisiri ne babagoberera emabega, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni.#Yos 24:6 10Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera emabega waabwe; ne batya nnyo. Abaana ba Isiraeri ne bakaabirira Mukama.#Yos 24:7, Nek 9:9 11Ne bagamba Musa nti, “Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri?#Zab 106:7 12Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti, ‘Tuleke tuweereze Abamisiri?’ Kubanga kirungi okuweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.”#Kuv 5:21; 6:9 13Musa n'agamba abantu nti, “Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero; kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna.#2 Byom 20:15,17, Is 41:10-14 14Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika.”#Ma 1:30; 3:22; 20:4, Yos 10:14; 23:3, 2 Byom 20:29, Nek 4:20
15Mukama n'agamba Musa nti, “Kiki ekikunkaabiriza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso. 16Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu; n'abaana ba Isiraeri banaayita wakati mu nnyanja nga ku lukalu.#Kuv 7:19 17Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala. 18Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.”#Kuv 7:5 19Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda emabega waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira emabega waabwe;#Kuv 23:20; 32:34, Kubal 20:16, Is 63:9 20n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro, abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna. 21Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.#Yos 4:23, Nek 9:11, Zab 74:13; 106:9 22Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu, amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.#Kuv 15:19, Kubal 33:8, Zab 66:6; 78:13, 1 Kol 10:1, Beb 11:29 23Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira emabega waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala. 24Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri. 25N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa; Abamisiri ne boogera nti, “Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.”
26Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.” 27Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.#Ma 11:4, Zab 78:53 28Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja emabega waabwe; tewaasigala n'omu ku bo. 29Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono. 30Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku olwo, mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja. 31Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne batya Mukama; ne bamukkiriza Mukama, n'omuddu we Musa.
Currently Selected:
Okuva 14: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.