YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 34

34
Okufa kwa Musa
1Awo Musa n'ava mu nsenyi z'e Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko. Mukama n'amulaga ensi yonna ey'e Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;#Ma 32:49 2ne Nafutaali yonna, n'ensi ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja Eyawakati; 3n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko, ekibuga eky'enkindu, okutuusa ku Zowaali.#Balam 1:16; 3:13, 2 Byom 28:15 4Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo; ngikulengeza bulengeza naye tolisomoka kugendayo.#Lub 15:18; 50:24, Ma 3:27 5Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ey'e Mowaabu, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali. 6Mukama n'amuziika mu kiwonvu, mu nsi ya Mowaabu okwolekera e Besupyoli; naye tewali muntu amanyi amalaalo ge gye gali okutuusa leero.#Yud 9 7Musa we yafiira yali awezezza emyaka kikumi mu abiri (120); eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.#Lub 27:1; 48:10 8Abaana ba Isiraeri ne bakungubagira Musa mu nsenyi za Mowaabu okumala ennaku asatu (30).#Lub 50:3, Kubal 20:29 9Era Yoswa omwana wa Nuuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kuv 28:3, Kubal 27:18,23, Yos 1:17, Is 11:2 10Okuva olwo mu Isiraeri tewabangawo nnabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya, n'ayogeranga naye nga balabagana maaso na maaso,#Kuv 33:11, Kubal 12:6-8, Ma 18:15,18 11n'akola obubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna.#Ma 4:34 12Era tewali nnabbi mulala yakola bya maanyi ebyo byonna era eby'entiisa eyo yonna nga Musa bye yakola ng'Abaisiraeri bonna balaba.

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in