YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 33

33
Musa asabira ebika by'abaana ba Isiraeri omukisa
1Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa.#Yos 14:6 2N'ayogera nti,
“Mukama yava ku Sinaayi,
Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri;
Yamasamasa okuva ku lusozi Palani,
Ng'ali wamu n'emitwalo gy'abatukuvu;
N'omuliro ogwaka ku mukono gwo ogwa ddyo.#Balam 5:4, Dan 7:10, Kaab 3:3, Yud 14, Kub 5:11
3Weewaawo, ayagala abantu be;
Abatukuvu be bonna bali mu mikono gye.
Ne batuula ku bigere bye
Okuwulira ebigambo bye.#Kos 11:1, Luk 10:39, Yok 10:27-29, Bik 22:3
4Musa yatuwa amateeka,
Bwe busika obw'ekibiina kya Yakobo.#Yok 1:17; 7:19
5Mukama yali kabaka mu Yesuluni.
Abakulembeze b'abantu, n'ebika byonna ebya Isiraeri bwe bakkuŋŋaana;”
6“Ab'ekika kya Lewubeeni babenga abalamu,
balemenga okufa,
Naye abantu be balemenga okwaala.”#Lub 49:3,4
7Ku kika kya Yuda n'ayogera nti,
“Wulira, Mukama, eddoboozi lya Yuda,
Omukomyewo mu baganda be;
Nyweza emikono gye nga yeerwanirira,
era omuwonye eri abalabe be.
N'emikono gye yeerwanirira;”#Lub 49:8-12
8Ne ku Kika kya Leevi n'ayogera nti, “Sumimu wo ne Ulimu wo biwe abasajja bo abatya Katonda,
Be wakemera e Masa,
Be wawakana nabo ku mazzi ag'e Meriba;#Lub 49:5-7, Kuv 17:7; 28:30, Kubal 20:13
9Abaanywerera ku ggwe
Okusinga ku bazadde baabwe,
Ne ku baganda baabwe,
ne ku baana baabwe.
Baawulira ebiragiro byo,
ne bakuuma endagaano yo.#Kuv 32:26-29, Mal 2:4-6, Mat 10:37, Mak 10:29, Luk 14:26
10Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo,
Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go;
Banaayoterezanga obubaane mu maaso go,
Banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebiramba ku kyoto kyo.#Kuv 30:7,8, Leev 10:11, Ma 17:9-11, Zab 51:19
11Ebintu byabwe, Mukama, biwenga omukisa,
Okkirize omulimu gw'emikono gyabwe;
Obetenterenga ddala abalabe baabwe,
abo ababakyawa balemenga okuddamu okubalumba.”#Zab 20:3
12Ku kika kya Benyamini n'ayogera nti,
“Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye;
Amubikkako okuzibya obudde,
Era anaabeeranga wakati mu bo.”#Lub 49:27
13Ne ku kika kya Yusufu n'ayogera nti,
“Ensi ye eweebwe Mukama omukisa;
Olw'omusulo omungi oguva mu ggulu,
N'amazzi agava wansi mu ttaka.”#Lub 27:28; 49:22-26
14N'ensi ye ebeeremu ebibala bingi ebyengezebwa enjuba,
n'ebikungulwa bingi buli mwezi.
15Ensi ye ebeeremu eby'omuwendo omungi ebiva mu nsozi ez'edda,
N'ebirungi ebiva mu busozi obutaggwaawo.
16Ensi ye eweebwe ebirungi bingi ebiweereddwa Mukama omukisa;
Olw'ekisa ky'oyo eyayogera ng'asinziira mu kisaka ekyaka omuliro.
N'omukisa gujje ku kika kya Yusufu,
oyo eyaggyibwa mu baganda be okuba omukulembeze.#Kuv 3:2-4
17Amaanyi ga Yusufu galinga ag'ente ennume embereberye;
Era galinga ag'amayembe g'embogo;
Aligatomeza amawanga n'agasindiikiriza ku nkomerero y'ensi;
Efulayimu alivaamu emitwalo n'emitwalo;
ne Manase enkumi n'enkumi;#Lub 48:19, 1 Bassek 22:11, Zab 44:5
18Ku kika kya Zebbulooni n'ayogera nti,
“Sanyuka, Zebbulooni, mu kutambula kwo,”
Ne ku kika kya Isakaali, n'ayogera nti, “sanyuka ng'oli mu weema zo.”#Lub 49:13-15
19Baliyita amawanga okujja ku lusozi lwabwe;
Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu;
Balifuna obugagga obungi obuva mu nnyanja ne mu musenyu gwayo.#Zab 4:5, Is 2:3
20Ne ku kika kya Gaadi n'ayogera nti,
“Mukama alibakwatirwa ekisa;
n'agaziya ensi yammwe,
Mulyoke mumwebazenga.
Alibwama ng'empologoma enkazi,
n'ataagula omukono n'omutwe.#Lub 49:19
21Abakulembeze bwe bakuŋŋaana,
yaweebwa ekitundu ekisinga obulungi eky'omugabo ogw'omukulembeze;
N'atuukiriza ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge yawa Isiraeri.”#Kubal 32:1-5,16-19, Yos 1:12-15; 4:12,13
22Ne ku kika kya Ddaani n'ayogera nti,
“Ddaani mwana wa mpologoma,
Abuuka okuva mu Basani.”#Lub 49:16,17, Yos 19:47, Balam 18:27
23Ne ku kika kya Nafutaali n'ayogera nti,
“Ggwe Nafutaali, Mukama akukwatiddwa ekisa,
era akuwadde omukisa;
Twala ensi ey'ebugwanjuba n'obukiika obwaddyo.”#Lub 49:21, Yos 19:32-39
24Ne ku kika kya Aseri n'ayogera nti,
“Aseri aweebwe omukisa ogusinga ku gwa banne;
Ayagalibwenga baganda be;
Ensi ye eyazenga amafuta ag'emizeyituuni.#Lub 49:20
25Ebibuga bye biggalwenga enzigi
ez'ekyuma n'ez'ekikomo.
Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.”
26“Ggwe Yesuluni, tewali afaanana Katonda,
Eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga,
Ng'ali mu kitiibwa ekingi,
n'ajja okukuyamba.#Kuv 15:11, Zab 68:33,34; 86:8; 104:3, Is 19:1, Kaab 3:8
27Katonda ataggwaawo kye kifo kyo ky'otuulamu,
Era emikono gye egitaggwaawo gikuwanirira:
yagoba abalabe okuva mu maaso go,”
Naayogera nti, “Mubazikirize.”#Zab 90:1
28Era Isiraeri anaatuulanga mirembe,
Abaana ba Yakobo banaabeeranga bokka,
Mu nsi ey'eŋŋaano n'omwenge;
Efukirirwa omusulo oguva mu ggulu.#Kubal 23:9, Zab 68:26, Is 48:1, Yer 23:6
29Olina omukisa, ggwe Isiraeri;
Teri akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama,
Mukama ye ngabo yo era kye kitala kyo ekikutaasa,
Era abalabe bo balikujeemulukukira;
Naawe olibawangula.#Ma 32:13, 2 Sam 7:23, Zab 18:44; 33:20; 115:9; 144:15, Is 45:17

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in