Ekyamateeka Olwokubiri 32
32
1Wulira, ggwe eggulu, nange naayogera;
N'ensi ewulire ebigambo by'akamwa kange.#Ma 4:26, Zab 50:4, Is 34:1
2Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng'enkuba,
Okwogera kwange kunaagwa ng'omusulo;
Ng'obukubakuba ku ssubi eggonvu,
Era ng'oluwandaggirize ku muddo#Yob 29:22,23, Zab 72:6, Is 55:10,11, Mi 5:7
3Kubanga nnaatenda erinnya lya Mukama:
Ne njatula obukulu bwa Katonda waffe.#Ma 3:24
4Lwazi, omulimu gwe mutuukirivu;
Asalawo obulungi ensonga;
Katonda mwesigwa, w'amazima,
Akola ebituufu eby'obwenkanya.#Yob 34:10, Zab 18:2,30,31, Is 30:29, Dan 4:37
5Naye abantu be boonoonyi,
era tebasaanidde kuba babe.
Bafuuse ggwanga kkakanyavu, eryakyama.#Mat 17:17, Luk 9:41, Baf 2:15
6Bwe mutyo bwe musasula Mukama,
Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi?
Ye Kitammwe eyabagula, n'abateekawo;
n'abafuula eggwanga.#Zab 74:2, Is 51:13; 63:16
7Jjukira ennaku ez'edda,
Lowooza emyaka emingi egiyise;
Mubuuze bakitammwe, babalage;
Bakadde bammwe bababuulire ebyaliwo.
8Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe,
Bwe yayawula abaana b'abantu,
Yassaawo ensalo z'amawanga
Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri.#Luk 11:8, Bik 17:26
9Kubanga Mukama ye nnyini yalonda abaana ba Yakobo,
okuba omugabo gwe era obusika bwe.
10Yabasanga babungeetera mu ddungu,
ekkalu kibuyaga mw'akuntira,
N'abakuuma n'abalabirira,
ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye.#Ma 8:15, Zab 17:8; 32:7,10, Yer 2:6, Zek 2:8
11Ng'empungu esaasaanya ekisu kyayo,
Epaapaalira ku bwana bwayo,
Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala,
N'abasitulira ku byoya bye.#Kuv 19:4
12Mukama yekka ye yabakulembera,
So tewaali katonda mulala eyamuyambako.#Is 43:12
13Yabawa okutuula mu nsi ey'ensozi,
Ne balya emmere ey'omunnimiro;
Ne balya omubisi gw'enjuki okuva mu njazi,
Ettaka ery'oluyinjayinja ne libaza emizeyituuni gyabwe.#Yob 29:6, Zab 81:16, Is 58:14, Ez 36:2
14Yabawa omuzigo gw'ente n'amata okuva mu bisibo byabwe,
N'amasavu g'endiga ez'e Basani, n'ennyama y'embuzi ensava,
N'abawa n'eŋŋaano ennungi, n'omwenge ogw'emizabbibu omulungi;#Lub 49:11
15Naye Yesuluuni bwe yagaggawala n'ajeema;
Mwagejjulukuka, ne munyirira, ne munneewulirirako;
Ne muva ku Katonda eyabakola,
Ne munyooma Olwazi olw'obulokozi bwammwe.#Ma 31:16,20, Zab 89:26, Is 1:4; 44:2
16Baamukwasanga obuggya nga baweereza bakatonda abalala,
Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.#Zab 78:58
17Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda,
Bakatonda abatamanyiddwa,
Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke,
Bajjajjaabwe be batasinzanga.#Balam 5:8, Zab 106:37, 1 Kol 10:20
18Lwazi eyabazaala temumujjukira,
Era mwerabidde Katonda eyabazaala.#Is 17:10, Yer 2:27
19Mukama bwe yakiraba n'asunguwala,
N'atamwa batabani be ne bawala be.#Is 1:2
20N'ayogera nti, Naabakisa amaaso gange,
Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba;
Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi,
Abaana omutali kukkiriza.#Ma 31:17
21Bankwasanga obuggya n'ekyo ekitali Katonda;
Bansunguwazanga n'ebigambo byabwe ebitaliimu:
Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga;
Ndibasunguwaza n'eggwanga essirusiru.#Ma 32:16, 1 Bassek 16:13, Yer 8:19, Bar 10:19
22Kubanga obusungu bwange bukoledde ng'omuliro,
Bwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo,
Era bwokya ensi n'ekyengera kyayo,
Era bukoleeza ensozi we zisibuka.#Yer 15:14, Kung 4:11
23Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo:#Ez 5:16,17
24Balikoozimba n'enjala, n'omusujja omungi gulibazikirizza,
Ensolo enkambwe ziribalya;
N'ebyewalula eby'omu nfuufu eby'obusagwa biribazikiriza.
25Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa,
Ne mu nnyumba entiisa en'ebabuutikiranga;
Binaazikirizanga omulenzi era n'omuwala,
Ayonka era n'omusajja ameze envi.#Kung 1:20
26N'ayogera nti, Nandibasaasaanyirizza wala,
Nnandimazeewo okujjukirwa kwabwe mu bantu;#Zab 34:16, Ez 20:23
27Singa saatya kuvvoola kw'abalabe,
Abaabakyawa baleme okwewaana,
Baleme okwogera nti Omukono gwabwe guwangudde,
Era Mukama si y'akoze bino byonna.#Zab 140:8
28Kubanga lye ggwanga eritalina magezi,
So tebalina kutegeera mu bo.#Is 27:11
29Singa balina magezi banditegedde ekyo,
Ne balowooza enkomerero yaabwe ey'oluvannyuma!#Zab 81:13, Luk 19:42
30Omu yandigobye atya olukumi,
N'ababiri bandiddusizza batya omutwalo,
Lwazi waabwe singa teyabatunda,
Era Mukama singa teyabaabulira?#Leev 26:8, Balam 2:14
31Kubanga olwazi lw'abalabe baffe teruliŋŋanga olwazi lwaffe,
N'abalabe baffe bennyini ekyo bakimanyi.#1 Sam 2:2; 4:8
32Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbibu ogw'e Sodoma,
Ne mu nnimiro ez'e Ggomola:
Ezabbibu zaabwe zabbibu za mususa,
Ebirimba byazo bikaawa:
33Omwenge gwabwe busagwa bwa misota,
Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa.
34Katonda ky'ategekedde okukola Isiraeri n'abalabe be,
ye akyesigalizza,#Yob 14:17
35Okuwalana kwange, n'okusasula,
Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera;
Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi,
N'ebigenda okubajjira biryanguwa.#Zab 94:1, Bar 12:19, Beb 10:30, 2 Peet 2:3
36Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango,
Era alyejjusa olw'abaddu be;
Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo,
So tewali asigaddewo, oba musibe
oba atali musibe.#Balam 2:18, 1 Bassek 14:10, Zab 106:45; 135:14, Beb 10:30
37Era alyogera nti, Bakatonda baabwe bali ludda wa,
Olwazi lwe beesiganga?
38Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe,
Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo eky'okunywa
Bagolokoke bababeere,
Babe ekigo kyammwe,#Balam 10:14, 1 Bassek 18:27, Yer 2:18
39Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo,
So tewali katonda mulala
Nze nzita, era nze mpa obulamu;
Nfumise, era mponya;
So tewali ayinza okubalokola okubaggya mu mukono gwange.#1 Sam 2:6, 2 Bassek 5:7, Yob 5:18, Is 41:4; 43:13; 44:8; 45:5, Kos 6:1
40Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu,
Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,#Kubal 14:28
41Ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa,
Mu buyinza bwange ndisala mazima
Ndiwalana eggwanga ku balabe bange,
Ndibonereza abo abankyawa.#Zab 7:12, Is 1:24
42Obusaale bwange bulijjula omusaayi,
N'ekitala kyange kirirya ennyama;
awamu n'omusaayi ogw'abattiddwa n'abawambiddwa,
N'emitwe gy'abakulembeze b'abalabe.#Yer 46:10
43Musanyuke, mmwe amawanga,
wamu n'abantu be;
Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be,
Era alibonereza abalabe be,
Era aliwonya ensi ye, n'abantu be.#2 Bassek 9:7, Bar 15:10, Kub 19:2
44Musa n'ajja ne Koseya, omwana wa Nuuni. Ne boogera ebigambo by'oluyimba luno byonna ng'abantu bawulira.#32:44 Koseya Era ye Yoswa. 45Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isiraeri, 46n'abagamba nti, “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliyigiriza abaana bammwe, balyoke bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka ago n'okubituukirizanga.#Ma 6:6,7 47Kubanga ebigambo bino si bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe, bye biribawaangaliza mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose omugga Yoludaani.”#Leev 18:5, Nge 3:2, Bar 10:5, Lub 49:8-12
Mukama alengeza Musa ensi ye Kanana
48Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti, 49“Yambuka mu nsozi za Abalimu, eziri mu nsi ya Mowaabu, olinnye ku lusozi Nebo, olw'olekedde Yeriko; olengere ensi ya Kanani gyempa abaana ba Isiraeri okuba obutaka bwabwe;#Kubal 27:12-14 50ofiire ku lusozi lw'olinnyako, ogoberere bajjajjaabo, nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'agoberera bajjajjaabe abantu be:#Kubal 20:24,25,28 51kubanga mwansobya ne munnyiiriza wakati mu baana ba Isiraeri, ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri;#Kubal 20:11-13 52Olirengera bulengezi ensi gyempa abaana ba Isiraeri, naye ggwe toligiyingiramu.”#Ma 3:27
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 32: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.