YouVersion Logo
Search Icon

Ekyamateeka Olwokubiri 29

29
Ekitundu ekyokusatu eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku bintu ebirala ebitali bimu
(29:1—30:20)
Endagaano ya Mukama n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu
1Bino bye bigambo eby'endagaano Mukama bye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, nga by'ongerwa ku bigambo by'endagaano gye yalagaana nabo ku lusozi Kolebu.#Ma 1:5; 5:2,3
2Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti, “Mwalaba byonna Mukama bye yakola Falaawo n'abaweereza be n'ensi yonna ey'e Misiri.#Kuv 19:4 3Mwalaba okugezebwa okw'amaanyi, n'obubonero, n'eby'amagero ebikulu;#Ma 4:34; 7:19 4Naye okutuusa kaakano Mukama tabawadde magezi ga kutegeera, na maaso ga kulaba, na matu ga kuwulira.#Is 6:9,10; 63:17, Ez 12:2, Mat 13:13, Yok 8:43, Bar 11:8,10 5Nange mpezezza emyaka ana (40) nga mbakulembera mu ddungu muno, so ebyambalo byammwe n'engatto zammwe tebikaddiye.#Ma 8:2,4 6Temwalyanga mmere ya bulijjo oba ekitamiiza, naye Mukama yabawanga emmaanu mulyoke mutegeere nga ye Mukama Katonda wammwe.#Kuv 16:4, Ma 8:3 7Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka w'e Basani ne batulumba okutulwanyisa, ne tubatta;#Kubal 21:21-24,33-35 8ne tutwala ensi yaabwe, ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka bwabwe.#Kubal 32:33 9Kale nno mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubituukirizenga, mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.”#Yos 1:7, 1 Bassek 2:3
10“Olwaleero mwenna muyimiridde mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mu bika byammwe, n'abakulu bammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri, 11abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne bannamawanga abali wakati wammwe, okuva ku mutyabi w'enku okutuuka ku mukimi w'amazzi;#Kuv 12:38, Yos 9:21 12Olyoke olagaane endagaano ne Mukama Katonda wo era weeyame okugituukirizanga; 13alyoke akufuule eggwanga lye, naye abeerenga Katonda wo, nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.#Lub 17:7, Kuv 6:7, Ma 28:9 14Endagaano eno n'obweyamo bwayo sigiragaana nammwe mwekka;#Yer 31:31,32 15naye nammwe abayimiridde wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe era ne abo abatannaba kuzaalibwa.#Bik 2:39 16Mujjukira embeera zetwalimu mu nsi ey'e Misiri, era ne bwe twatambulanga okuyita mu nsi z'abamawanga amalala; 17era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaananyi byabwe, eby'emiti, eby'amayinja, eby'effeeza, n'ebya zaabu; 18n'olwekyo waleme okubaawo mu mmwe leero, omusajja oba omukazi, oba nnyumba oba ekika, akyamya omutima gwe n'ava ku Mukama Katonda waffe okusinza ba katonda b'amawanga gali, n'abanga ekimera ekikaawa eky'obutwa.#Beb 12:15 19Naye singa wabaawo omuntu yenna mu mmwe abali wano leero, abawulidde ebigambo eby'ekikolimo kino, n'alowooza mu mutima gwe nti alaba bulungi, wadde nga agugubidde mu bukakanyavu bw'omutima gwe; ekyo kigenda kuzikiriza mwenna abalungi n'ababi. 20Mukama taamusonyiwenga, naye obuggya n'obusungu bwa Mukama bunaamubuubuukirangako, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuva ku nsi.#Ma 9:14, Zab 74:1; 79:5 21Omuntu oyo Mukama anaamufuulanga ekyokulabirako mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'amussaako ebikolimo byonna eby'endagaano, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka. 22Mu mirembe egijja, ezzadde lyammwe eriribaddirira, ne bannamawanga abanaavanga mu nsi ez'ewala, banaalabanga ebibonyoobonyo by'ensi yammwe ne ndwadde Mukama zabataddeko. 23Ensi yammwe yonna eneebanga eyokeddwa, ng'efuuse olukalaggye n'olunnyo. Eriba tekyasigibwamu kantu, nga terina ky'esobola kubaza, era nga tekyameramu muddo. Eriba ezikiriziddwa nga Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza olw'obusungu bwe.#Lub 19:24,25, Balam 9:45, Zab 107:34, Yer 17:6, Zef 2:9 24Amawanga gonna galyebuuza nti, Mukama ekimukozesezza ensi eno bw'ati kiki? Kiki ekyamusunguwaza ennyo bw'atyo?#1 Bassek 9:8,9, Yer 22:8,9 25Abantu ne balyoka baddamu nti, ‘Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri; 26ne bagenda ne basinza, ne baweereza bakatonda abalala, be baali batamanyi era be yabagaana. 27Obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;#Leev 26:14-29, Ma 28:15-68, Zab 11:6, Dan 9:11 28Mukama mu busungu bwe n'ekiruyi kye, n'okunyiiga okungi, kye yava abagoba mu nsi yaabwe, n'abasaasaanyiza mu nsi endala nga bwe kiri leero.’ ”#1 Bassek 14:15, 2 Byom 7:20, Yer 22:26
29“Eby'ekyama biba bya Mukama Katonda waffe; naye ebibikkulibwa biba byaffe era by'abaana baffe, emirembe gyonna, tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omumateeka gano.”#Yer 23:18, Am 3:7, Luk 16:29, Yok 5:39, 2 Tim 3:16,17

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in