Ekyamateeka Olwokubiri 28
28
Emikisa gy'obuwulize
1Bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo n'okugondera ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi#Kuv 15:26; 23:22, Leev 26:3, Ma 26:19 2Bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, emikisa gino gyonna ginaakujjiranga era ginaakutuukangako. 3Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo.#Lub 39:5 4Onoobanga n'omukisa n'ozaala abaana bangi, era n'oyaza ebirime, ebiraalo by'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi.#Kuv 23:26, Ma 7:13 5Onoobanga n'emmere ekumala okulya n'okutta. 6Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga.#Zab 121:8 7Abalabe bwe banaakulumbanga okukulwanyisa Mukama anaakuwanga obuwanguzi. Banaafulumanga okukulumba mu kkubo limu, naye ne badduka okuva mu maaso go mu makubo musanvu.#Kuv 23:22,27 8Mukama anaawanga omukisa emirimu gyo gyonna n'amaterekero go ganajjulanga emmere era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy'akuwa okutuulamu.#Leev 25:21, Ma 12:7; 15:4, Nge 3:10 9Bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliranga mu makubo ge, Mukama anaakufuulanga eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakulayirira.#Kuv 19:5,6, Ma 7:6 10Amawanga gonna ag'oku nsi bwe ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ganaakutyanga.#Kubal 6:27, Ma 2:25 11Mukama anaakuwanga ebirungi bingi, n'ozaala abaana bangi, n'ayaza ebisibo byo era n'ebirime byo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.#Ma 28:4; 30:9 12Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi ery'omu ggulu, n'atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era n'akuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola; era onoowolaga amawanga mangi naye nga ggwe tewewola.#Leev 26:4, Ma 11:14; 14:29; 15:6 13Bw'onoowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkukuutira leero okubikwatanga n'okubikola, Mukama anaakufuulanga mutwe, so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi. 14Tokyamanga mu kigambo kyonna okuva ku ebyo bye nkulagira leero, n'oweereza bakatonda abalala.#Ma 5:32
Ebikolimo ebiva mu bujeemu
15Naye, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero; ebikolimo bino byonna birikujjira, era birikutuukako.#Leev 26:14, Kung 2:17, Dan 9:11,13, Mal 2:2 16Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo.#Ma 28:3-6 17Onoozaalanga abaana batono n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala. Toobenga na mmere ekumala, era bw'onoolyanga tokkutenga 18Toozaalenga baana bangi, era n'ebikungulwa byo binaabanga bitono ddala; ebiraalo by'ente zo n'embuzi zo tebiiyalenga. 19Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga. 20Bw'onookolanga ebibi n'ova ku Mukama, anaakuleetangako ebikolimo, n'okulemwa, n'okunenyezebwa mu byonna by'onookolanga okutuusa lw'olizikirizibwa n'oggweerawo ddala mangu.#Yos 23:16, Zab 80:16, Is 51:20; 66:15, Mal 2:2 21Mukama anaakuleetangako kawumpuli anaakumalirangawo ddala okuva mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okubeeramu.#Leev 26:25, Kubal 14:12 22Mukama anaakuleetangako endwadde ezinaakukenenyanga, n'omusujja, n'okuzimba, n'okubabuukirirwa okungi. Era anaakusindikiranga entalo n'ekyeya n'okugengewala kw'ebirime. Ebyo byonna binaakulemerangako okutuusa lw'oliggweerawo ddala.#Leev 26:16, 1 Bassek 8:37, Am 4:9, Kag 2:17 23Katonda anaaggalangawo eggulu enkuba n'etatonnya, n'ettaka lyo linaafukanga olukalajje.#Leev 26:19 24Mu kifo ky'enkuba, Mukama anaasindikanga mbuyaga ya nfuufu n'omusenyu mu nsi yo, okutuusa lw'olizikirira. 25Abalabe bo bwe banaakulumbanga Mukama anaakuvangamu ne bakuwangula; bw'onoofulumanga okubalumba okuva mu kkubo erimu on'oddukanga okuva mu maaso gaabwe mu makubo musanvu. Amawanga gonna ag'oku nsi, bwe ganaawuliranga ebikutuuseeko ganeewuunyanga, negatya.#Leev 26:17, Ma 28:7; 32:30, 2 Byom 29:8, Yer 15:4; 24:9, Ez 23:46 26Bw'onoofanga omulambo gwo gunaabanga kya kulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'ensolo ez'omu nsiko; so tewaabengawo aziguŋŋumula.#Yer 7:33 27Mukama anaakuleetangako amayute nga ge yalwaza Abamisiri, amabwa, n'endwadde ez'okwetakula, ebitawona.#Kuv 9:9, Leev 21:20, Am 4:10 28Mukama anaakusuulanga eddalu, anaakuzibanga amaaso era anaakweraliikirizanga.#Zek 12:4 29Onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza, so toolabenga mukisa mu makubo go; onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo akulokola#Yob 5:14, Is 59:10 30Bw'onooyogerezanga omukazi, omusajja omulala aneegattanga naye; bw'onozimbanga ennyumba, togisulengamu; era bw'onosimbanga olusuku lw'emizabbibu, toolyenga ku bibala byalwo.#Yer 8:10, Am 5:11, Zef 1:13 31Ente yo enettibwanga nga olaba, naye toolyenga ku nnyama yaayo; endogoyi yo eneenyagibwanga ng'otunula, so tekuddizibwenga; n'endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, naye toobengako akuyamba. 32Batabani bo ne bawala bo banaawambibwanga; onookandanga kutunula buli lunaku bakomewo, nga buteerere, naawe toobengako ky'oyinza kukola.#2 Byom 29:9, Yo 3:6 33Eggwanga ly'otomanyi lirirya ebikungulwa byonna eby'ettaka lyo byewateganira; era onoojoogebwanga, n'onyigirizibwanga ennaku zonna.#Leev 26:16, Nek 9:37, Is 62:8 34Ennaku eyo gy'onoolabanga eneekulalusanga. 35Mukama anaakulwazanga ku maviivi ne ku magulu amayute agatawonyezeka, ne gakubuna omubiri gwonna, okuva ku bigere okutuuka ku mutwe.#Ma 28:17 36Mukama anaakuwaŋŋangusanga ggwe, ne kabaka wo gw'olyerondera okukufuga; n'akutwala mu ggwanga eddala, ggwe ne bajjajjaabo lye mutamanyangako, era onooweererezanga eyo ba katonda abalala, emiti n'amayinja.#2 Bassek 17:4,6; 24:12,14; 25:7,11, 2 Byom 33:11, Yer 16:13 37Mu nsi Mukama gy'anaabanga akuwaŋŋangusirizza, abantu baamu baneewuunyanga ekikutuuseko ggwe, n'owemuka ne bakusekerera.#1 Bassek 9:7, Yer 24:9 38Onoosiganga ensigo nnyingi, naye n'okungulanga ebibala bitono, kubanga enzige zinaabiryanga.#Yo 1:4, Mi 6:15, Zef 1:13, Kag 1:6 39Bw'onosimbanga ensuku ez'emizabbibu, n'ozirabirira, toonywenga ku mubisi gwamu newakubadde okukungulamu ebibala, kubanga obuwuka bunaagiryanga. 40Onoobanga n'emizeyituuni mu nsi yonna; naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga ginaakunkumulanga ebibala byagyo. 41Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe.#Kung 1:5 42Emiti gyo gyonna n'ebikungulwa okuva mu ttaka lyo enzige zinaabiryanga. 43Bannaggwanga ababeera mu nsi yo baneeyongeranga okukulakulana, naye ggwe nga weeyongera kufeeba. 44Munnaggwanga anaakuwolanga naye ggwe nga tolina ky'oyinza kumuwola; ye anaabeeranga waggulu, ggwe n'obeera wansi, era ye anaakufuganga.#Ma 28:12,13 45Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira:#Ma 28:15 46era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna:#Is 8:18 47kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi:#Nek 9:35 48kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza.#Yer 28:14 49Mukama alikuleetako ggwe abantu ab'eggwanga eddala ng'abaggya ewala ku nkomerero gy'ensi; aboogera olulimi lw'ototegeera, ne bafubutuka ne bakulumba ng'empungu bw'ekola.#Is 5:26; 33:19, Yer 5:15; 6:22; 48:40, Kaab 1:8 50Abo baliba bakambwe, nga tebatya bakadde, wadde okusaasira abaana abato.#2 Byom 36:17, Yer 6:23 51Banaalyanga ebisolo byo n'emmere gy'olimye, ne batakulekerawo ŋŋaano wadde omubisi gw'emizabbibu oba amafuta g'omuzeeyituni; wadde ente oba embuzi; n'ofa enjala n'ozikirira.#Ma 28:33, Is 1:7, Yer 5:17 52Era banaakuzingizanga mu bibuga byo byonna ebiwanvu era ebigumu bye weesiga, ebiri mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwadde, ne babimenyaamenya.#2 Bassek 17:5; 25:1 53Mukuzingizibwa ne mukunyigirizibwa abalabe, onoolyanga abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo baakuwadde.#Leev 26:29, 2 Bassek 6:28,29, Yer 19:9, Kung 2:20 54Omusajja ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, bwalituuka okulya abamu ku baana be, ku nnyama eyo taliwaako muganda we, oba mukazi we omuganzi, wadde abaana be abakyaliwo.#Ma 15:9 55Era olw'obutabaako ky'alya kirala kyonna, ku nnyama y'abaana be banaalyanga, taliwaako muntu mulala yenna, olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe kw'anaabangamu. 56Omukazi ow'empisa ennungi era omwegendereza ennyo, ataganya na kulinnya kigere kye ku ttaka; olw'okuzingizibwa n'okunyigirizibwa abalabe, bba gw'ayagala ennyo, ne mutabani we, ne muwalawe anaabalyangako ennyama y'omwana gwe yaakazaala n'ekitanyi mu nkukutu, 57anaabalyangako mu nkukutu omwana gwe yaakazaala, n'ekitanyi, olw'okubulwa eby'okulya, n'okuzingizibwa, n'okunyigirizibwa abalabe. 58Bw'otookwatenga ebiri mu mateeka gano gonna agawandiikiddwa mu kitabo kino n'obituukiriza, era bw'otatyenga linnya lya Mukama Katonda wo ery'ekitiibwa era ery'entiisa,#Kuv 6:3, Zab 99:3, Is 29:23, Mal 1:14 59Mukama anaakuleeteranga ggwe n'ezzadde lyo okubonaabona okutatendeka, okunene era okutasalako, n'endwadde embi era ezitawona, anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebibonyoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo. 60Era alikulwaza endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; zinaakwezingangako ggwe.#Kuv 15:26, Am 4:10 61Era anaakuleeteranga buli ndwadde, n'okubonaabona ebitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, okutuusa lw'olizikirizibwa. 62Bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, ne bwe mulyala okwenkana emmunyeenye ez'oku ggulu mulikendeera.#Ma 4:27; 10:22, Is 6:9,10; 63:17, Ez 12:2, Mat 13:13, Yok 8:43, Bar 11:8,10, Ma 8:2,4 63Nga Mukama bwe yasanyuka okubakolera ebirungi n'okubaaza, bw'atyo bw'anaasanyukanga okubazikiriza n'okubasaanyaawo, okuva mu nsi gye mugenda okubeeramu.#Nge 1:26, Is 62:5, Yer 32:41, Ez 5:13, Zef 3:17 64Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n'amayinja.#Leev 26:33, Ma 4:28; 28:36, Yer 16:13; 19:4, Luk 21:24 65Era mu mawanga ago tolisanyukirayo, tolibaako w'otereera, wabula Mukama alikuwa omutima ogweraliikirira, nga tolaba w'olaga era nga tolina ssuubi.#Leev 26:36, Ez 21:7, Am 9:4 66Emisana n'ekiro, obulamu bwo bunaabanga mu kutya n'okweraliikirira nga tomanyi kigenda kukubaako. 67Ku nkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era n'akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'ebyo by'onoolabanga n'olw'okutya okungi n'okweraliikirira.#Yob 7:4 68Mukama alikuddizaayo mu lyato e Misiri, gye nakugamba nti toliddayo gwa kubiri. Nga oli eyo, olyewaayo eri abalabe bo bakugule ng'omuddu oba omuzaana, naye tewaliba akugula.#Ma 17:16, Yer 43:7, Kos 8:13; 9:3
Currently Selected:
Ekyamateeka Olwokubiri 28: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.