1
Zabbuli 77:11-12
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda. Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
Compare
Explore Zabbuli 77:11-12
2
Zabbuli 77:14
Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
Explore Zabbuli 77:14
3
Zabbuli 77:13
Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
Explore Zabbuli 77:13
4
Zabbuli 77:1-2
Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga. Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
Explore Zabbuli 77:1-2