Abasudodi bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama. Ne baddira Dagoni ne bamuzza nate mu kifo kye. Awo bwe baagolokoka olw'okubiri enkya mu makya, laba, Dagoni ng'agudde amaaso ge nga gali wansi mu maaso ga ssanduuko ya Mukama; n'omutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombi eby'emikono gye nga bitemeddwako nga bigalamidde mu mulyango; ekiwududu kya Dagoni kye kyamusigalirawo kyokka.