1
Yeremiya 8:22
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Teri ddagala mu Gireyaadi? Teri musawo eyo? Kale kiki ekirobedde omuwala w'abantu bange okuwona?
Compare
Explore Yeremiya 8:22
2
Yeremiya 8:4
“Era nate obagambanga nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Abantu baligwa ne batayimuka nate? Omuntu alikyama n'atadda?
Explore Yeremiya 8:4
3
Yeremiya 8:7
Weewaawo, kasida ow'omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n'akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama.”
Explore Yeremiya 8:7
4
Yeremiya 8:6
Nawuliriza n'obwegendereza, naye nga tewali ayogera bya mazima; tewali muntu yeenenya bubi bwe ng'ayogera nti, ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso mu lugendo lwe ng'embalaasi efubutuka okugenda mu lutalo.
Explore Yeremiya 8:6
5
Yeremiya 8:9
Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa, laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?
Explore Yeremiya 8:9