Kubanga ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri, ssaayogera ne bajjajjammwe era n'okubalagira eby'ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka. Naye kino kye nnabalagira nti, ‘Muwulirenga eddoboozi lyange, nange n'abanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange; era mutambulirenga mu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’