1
Yeremiya 6:16
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo. Naye ne boogera nti, ‘Tetuutambulire omwo.’
Compare
Explore Yeremiya 6:16
2
Yeremiya 6:14
Bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti, ‘Mirembe, mirembe;’ so nga emirembe tewali
Explore Yeremiya 6:14
3
Yeremiya 6:19
Wulira, ggwe ensi; laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulirizza bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.
Explore Yeremiya 6:19
4
Yeremiya 6:10
Ani gwe mba njogera naye, era gwe nnalabula, alyoke awulire? Laba amatu gaabwe gagaddwa, era tebayinza kuwuliriza; laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.
Explore Yeremiya 6:10