1
Yeremiya 2:13
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ebitayinza kubaamu mazzi.”
Compare
Explore Yeremiya 2:13
2
Yeremiya 2:19
Obubi bwo ggwe buli kubonereza, era n'okuseeseetuka kwo kulikunenya. Manya era olabe nti kigambo kibi era kya bubalagaze, ggwe okuleka Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
Explore Yeremiya 2:19
3
Yeremiya 2:11
Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baalyo, newakubadde nga si bakatonda ddala? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitagasa.
Explore Yeremiya 2:11