Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa; kale londa obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo. Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga eddoboozi lye, wegattenga naye; kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaalakwo; olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjaabo: Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.