1
Ekyamateeka Olwokubiri 28:1
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo n'okugondera ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi
Compare
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:1
2
Ekyamateeka Olwokubiri 28:2
Bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, emikisa gino gyonna ginaakujjiranga era ginaakutuukangako.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:2
3
Ekyamateeka Olwokubiri 28:13
Bw'onoowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkukuutira leero okubikwatanga n'okubikola, Mukama anaakufuulanga mutwe, so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:13
4
Ekyamateeka Olwokubiri 28:12
Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi ery'omu ggulu, n'atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era n'akuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola; era onoowolaga amawanga mangi naye nga ggwe tewewola.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:12
5
Ekyamateeka Olwokubiri 28:7
Abalabe bwe banaakulumbanga okukulwanyisa Mukama anaakuwanga obuwanguzi. Banaafulumanga okukulumba mu kkubo limu, naye ne badduka okuva mu maaso go mu makubo musanvu.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:7
6
Ekyamateeka Olwokubiri 28:8
Mukama anaawanga omukisa emirimu gyo gyonna n'amaterekero go ganajjulanga emmere era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu nsi gy'akuwa okutuulamu.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:8
7
Ekyamateeka Olwokubiri 28:6
Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:6
8
Ekyamateeka Olwokubiri 28:3
Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:3
9
Ekyamateeka Olwokubiri 28:4
Onoobanga n'omukisa n'ozaala abaana bangi, era n'oyaza ebirime, ebiraalo by'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:4
10
Ekyamateeka Olwokubiri 28:9
Bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliranga mu makubo ge, Mukama anaakufuulanga eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakulayirira.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:9
11
Ekyamateeka Olwokubiri 28:5
Onoobanga n'emmere ekumala okulya n'okutta.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:5
12
Ekyamateeka Olwokubiri 28:11
Mukama anaakuwanga ebirungi bingi, n'ozaala abaana bangi, n'ayaza ebisibo byo era n'ebirime byo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:11
13
Ekyamateeka Olwokubiri 28:10
Amawanga gonna ag'oku nsi bwe ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ganaakutyanga.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:10
14
Ekyamateeka Olwokubiri 28:14
Tokyamanga mu kigambo kyonna okuva ku ebyo bye nkulagira leero, n'oweereza bakatonda abalala.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:14
15
Ekyamateeka Olwokubiri 28:15
Naye, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero; ebikolimo bino byonna birikujjira, era birikutuukako.
Explore Ekyamateeka Olwokubiri 28:15